All Uganda news

Bukedde TV

Subscribe to Bukedde TV feed Bukedde TV
The most recent articles
Updated: 1 hour 50 min ago

Omusinga Mumbere agguddwaako emisango emirala

Sun, 01/15/2017 - 16:19

Bya KIZITO MUSOKE ne JACKIE NAMBOGGA POLIISI eggudde ku Mumbere emisango emirala egy’obutujju n’obutemu oluvannyuma lw’okuddamu okumukwata nga kkooti yaakamuyimbula. Andrew Felix Kaweesi, omwogezi...

Ensonga lwaki Museveni aggyeewo Kulayigye

Sun, 01/15/2017 - 16:19

COL. Felix Kulayigye okuggyibwa ku kifo ky’omulung’amya w’ebyobufuzi mu UPDF kiddiridde okwenyigira mu ddiiri ya zaabu (gold). Kulayigye y’omu ku babaka abakiikirira UPDF mu palamenti. Asuuliddwa mu nkyukakyuka...

Kabaka aggalawo leero ekisaakaate

Sun, 01/15/2017 - 16:19

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebikolobero okuli ettemu,obubbi n'obugwenyufu ebikolebwa ensangi biva ku kuba nti ababikola tebafuna mukisa gwa kubuulirirwa bwatyo n'asaba buli muntu okuwagira...

Uganda etuuse bulungi e Gabon okuvuganya mu za AFCON 2017

Sun, 01/15/2017 - 13:19

UGANDA Cranes etuuse bulungi e Gabon gy'egenda okwetabira mu mpaka z’omupiira gwa Africa ez’akamalirizo eza AFCON 2017 omulundi ogusooka oluvannyuma lw’emyaka 39. Abazannyi ba Uganda Cranes nga baakava...

Ekiri mu ssomero omwana wo gye yeegomba okugenda mu S1

Sun, 01/15/2017 - 13:19

ABAYIZI bangi balindiridde kulaba oba baweebwa ebifo mu masomero agasinga okuyaayaanirwa. Abazadde n’abayizi bangi bawulira mannya g’amasomero ago, olumu n’okugalengera nga bayitawo, kyokka ebiri munda...

Jjajja adda n’atubanja ennyumba y’ekiggya

Sun, 01/15/2017 - 13:19

TUSOBEDDWA eka ne mu kibira. Jjajja omugenzi Robert Matovu, agaanye okuwummula emirembe, ayagala tuzimbe enju y’oku biggya kyokka ne munisipaali etugaanye. Emyaka gyekulungudde 97 be ddu bukya jjajjaffe...

Eddiini taata gye yatuyigiriza yansikiriza okusoma obuweereza

Sun, 01/15/2017 - 13:19

OLWA December 12, 2015 terugenda kutuva mu mutwe olwa mmotoka eyo eyakutomera ng’osala ekkubo eyakutwala eri Omutonzi wo. Gwe mwaka mulamba nga kati tutunuulidde January 21, 2017 okukujjukira kuba lwe...

Eyasaba okufiira ku myaka 90 akituukirizza

Sun, 01/15/2017 - 13:19

MICHEAL Ssenkungu abadde omutuuze w’e Mengo- Bulange olwawezezza emyaka 90 gye yali ayagala okumala ku nsi n’afa era nga bwe yayongeranga eri mikwano gye. Ssenkungu yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago obulwadde...

Embiro tezaamweyimiridde

Sun, 01/15/2017 - 13:19

JERMAINE Powell abadde amanyi anaagumaza mbiro! Yakwatiddwa n’asimbibwa mu kkooti ku by’okukuba mukazi we n’amutta. Powell, omukazi Catherine Benyamin yamukubira mu nnyumba yaabwe eri ku luguudo Keating...

Omusajja ankubye n’anjasa emimwa

Sun, 01/15/2017 - 13:19

Viola Ashaba, bba amwasimula bugolo! Nnakawere ono aloopye kitaawe w’omwana eyamuleka mu nnyumba ku poliisi ng’agamba nti yamulumbye n’amukuba ng’ayagala kumuggyako masuuka n’omufaliso. Ashaba, 20...

Roden Y oba akozesa biki?

Sun, 01/15/2017 - 13:19

Mutabani wa Jeff Kiwa, Roden Y abangi gwe baakazaako erya Kabako oba akozesa biki. Obwedda ayimba akozesa amaanyi mangi nga bw’atuuyana era yalabye omujoozi gutobye entuuyo n’agweyambula n’agukasuka...

Olunzaddemu abalongo abookubiri Ssaalongo n’atuddukako

Sun, 01/15/2017 - 13:19

NNAALONGO Eva Nakimuli ku myaka 25 alina abalongo ba mirundi ebiri ab’omuddiringanwa, Ssaalongo olwategeera nti Nnaalongo olubuto olw’okubiri nalwo lw’abalongo n’amuddukako n’okutuusa kati tamuwa buyambi....

‘Kyakulassajja’ bamumaze amampaati

Sat, 01/14/2017 - 19:17

MWANAMUWALA naye oba muyite ‘kyakulassajja’ eyagenze n’olulenzi lwe okweriira ku ssente baavuddeyo buli omu anyiga biwundu era nga tewali awuuna munne.   Entabwe yavudde ku wabifaananyi kukuba...

‘Nze ndi ‘Musama’ n’amaja ngalina…’

Sat, 01/14/2017 - 19:17

“NZE ndi Musama n’amaja ngalina.” Bwatyo mwanamulenzi ono obwedda bwe yeesomera ku byana obwedda byasalako okuzina nabyo bwe yeewaana. Ono yabadde mu kivvulu kya Ug Mix ekyategekeddwa mu bimuli bya...

'Omuyindi yantigaatiga mu mbugo n'ankolako eby'ensonyi'

Sat, 01/14/2017 - 16:17

OMUYINDI akulira ettabi ly'essundiro ly'amafuta erya Shell ku Jinja Road okumpi ne Kitgum House talabiseeko mu kkooti okwewozaako ku musango ogumuvunaanibwa okukabasanya omukozi we. Bashir Lobo yabadde...

Basunsudde 3 okumyuka Gen. Kayihura

Sat, 01/14/2017 - 16:17

MU nkyukakyuka ezisuubirwa okukolebwa mu poliisi, mwe muli n’ekifo ky’omumyuka w’omuduumizi wa poliisi ekizzeeko okuvuganya okw’amaanyi. Amannya asatu gaamaze okusunsulwa akakiiko ka poliisi akafuzi...

Makerere ewadde Kato Lubwama ebiwandiiko n'awaga

Sat, 01/14/2017 - 16:17

OMUBAKA wa Lubaga South, Paul Kato Lubwama ayogeza maanyi oluvannyuma lwa yunivasite y’e Makerere okumuwa ebbaluwa ekakasa nti emitendera gyonna gye yayitamu okufuna ebbaluwa ya Dipuloma gyali mituufu....

Omwenge kkoyi!

Sat, 01/14/2017 - 16:17

EBITAMIIZA kambiveeko nsobole okuzza omukwano gwa mukyala wange kuba kirabika y’ensonga lwaki essanyu mu maka gaffe lyaggwaawo. Nze Harunah Ssempijja 38, ndi mutuuze w’e Ndejje Lubugumu. Tumaze ne mukyala...

Baze tanyumisa kaboozi

Sat, 01/14/2017 - 16:17

ABAFUMBO bangi tebatwala budde kwetegereza bisanyusa bannaabwe. Abamu beegatta kutuusa mukolo era embeera eno ereeta n’obwenzi mu maka. Abasajja abamu balowooza nti ye omusajja y’alina okufuna essanyu...

Ebisomesebwa mu kisaakaate bitwalibwe mu masomero - Nnaabagereka

Sat, 01/14/2017 - 16:17

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda agambye nti Ekisaakaate kirimu ebintu bingi ebirungi ebisaanye n’okuteekebwa mu bisomesebwa mu masomero singa eggwanga lyakubeera n’abaana abato ab’empisa era abantu balamu....

Pages