All Uganda news

Bukedde TV

Subscribe to Bukedde TV feed Bukedde TV
The most recent articles
Updated: 1 hour 9 min ago

'Ssente z'okulonda kwa LC1 twazikozesezza okulwanyisa enjala'

Thu, 03/23/2017 - 20:34

BYA MARY NAMBWAYO Bino abyogeredde ku Media Centre mu Kampala mu lukung'aana lwa bannamawulire n'agamba nti ababadde bakoze enteekateeka baguminkiriza kuba ssente zijja kufunika mu kaseera akatali keewala....

Ebiraga nga poliisi bw’erimu abakolagana n’abamenyi b’amateeka: Abamenyi b’amateeka abamu babayingizza mu Poliisi

Thu, 03/23/2017 - 20:34

MU 2001, Omulamuzi Julia Ssebutinde bwe yamaliriza lipooti ye ku nguzi n’emivuyo egiri mu kitongole kya Poliisi, bingi bye yazuula ne bye yawabula bikolebwe okuleetawo enkyukakyuka tebyakolebwa, ebisinga...

Okutwalira amateeka mu ngalo: ‘Abantu be nkiikirira okunsibako obubbi bwa bodaboda kyandekera enkovu’

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Amaka ge ge baasooka okusaanyaawo, naye ne bamukuba ng’abatuuze mu muluka gw’e Nfumbye mu Mityana bamulumiriza okwenyigira mu kutemula owa bodaboda. Enfa ya Peter Kalyango eyali yakazibwako “Pieri”...

Kaweesi abaamusse baasoose kumuweereza bubaka ku ssimu obusoma nti 'Nja ku kutta'

Thu, 03/23/2017 - 17:34

KIZUULIDDWA nti ennaku bbiri nga tanattibwa, Andrew Felix Kaweesi abadde omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, yasisinkanye omusumba w’Abakatoliki n'amutegeeza nga bwe yeekengedde olw'obubaka abatemu bwe baamuweerezza...

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Tukulaze ensonga 7 lwaki Asan Kasingye alondeddwa okusikira Andrew Felix Kaweesi. Mulimu ebyobugagga Kaweesi by’alese ng’engeri gy’alese ng’ategekedde famire ye. Kuno tukugattiddeko ebyavuddeko kabineti...

Omubaka wa Bufalansa yeeyamye okuyamba omupiira gwa Uganda

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Mu gw’omukwano ku Lwomukaaga e Namboole Uganda Cranes – France Military Team, ssaawa 10 Omubaka Stephanie Rivoal bino abyogeredde Mengo ku kitebe kya FUFA bwabadde ayogerako eri abamawulire nga balambulula...

Kabenge ayiikudde ekisaawe ky'e Kanyanya abatuuze ne batabuka

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Ekisaawe kino kimanyiddwa ng'ekya Express eyakitendekerangamu mu myaka gy'e 80. Famire eyakulembeddwa Joseph Matovu Kintu, omu ku batabani b’omugenzi egamba nti kitaabwe yawaayo ettaka okutudde ekisaawe...

Uganda yeesunga midaali mu za IAAF

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Ttiimu emaze omwezi mulamba ng’etendekebwa e Kapchorwa, era omutendesi Benjamin Longiross alinaagamba nti ejja kuwanirira bendera ya Uganda ng'ekukumba emidaali. "Tukimanyi nti tugenda kusisinkana abaddusi...

Pulezidenti Museveni alondoole enzimba ya Nakivubo

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Bannayuganda naddala abanyumirwa emizannyo balindiridde okulaba oba ebiwandiikibwa mu mawulire n’ebyogerwa ku Nakivubo bituukirira, Nakivubo addemu avuganye ne Namboole okukyaza emipiira gya Cranes n’egya...

Landiroodi yantwalako omukazi ng’amuzaddemu

Thu, 03/23/2017 - 17:34

Bannange obwavu ddala mpologoma bw’oteerwanako ekulya. Nze bantwalako omukazi lwa bwavu. Twamala ne munnange ono emyaka etaano era mu kiseera we nnamukwanira yali akyasoma era ng’abeera mu bakadde be....

Tamanyi luyimba lwa ggwanga

Thu, 03/23/2017 - 17:34

OKUSOOKERA ddala teriiyo ssomero litendeka bakazi kuyimba. Abantu kye bayita okuyimba bibeera bigambo bye bakozesa okuwaana bannaabwe nga bali mu kaboozi k’ekikulu. Kituufu waliyo abakazi abatamanyi...

Aba Aba UCU e Mukono baloopye minisita ababbira ettaka

Thu, 03/23/2017 - 14:33

Aba yunivasite e Makerere nabo bagamba nti n’eryabwe erisangibwa mu Katanga, Makindye n’e Kabanyoro liriko abantu abeesenzaako nga bakuumibwa baserikale bammundu era bagezezzaako okubagobako ne bagenda...

MULAGO : Abakugu bawadde amagezi ku bbula ly'eddagala mu ddwaliro

Thu, 03/23/2017 - 14:33

Bagamba nti kino kye kivuddeko ebbula ly’eddagala mu ddwaliro lino, ekiyinza n’okuletera abalwadde abamu okufiirwa obulamu bwabwe. Omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti, John Muwanga agamba nti Gavumenti...

Palamenti eragidde Kayihura okufumuula abeesenza ku ttaka ly'eddwaliro e Butabika

Thu, 03/23/2017 - 14:33

Ababaka bagamba nti bennyamivu olw’engeri poliisi gy’ekuumamu abeesenza ku ttaka ly’eddwaliro lino era nti abaddukanya eddwaliro lino baali bakolaganye ne poliisi ekuuma obutonde bw’ensi okufumuula ...

Okutwalira amateeka mu ngalo: ‘Bansibako kubba bodaboda abantu ne bankuba kata banzite’

Thu, 03/23/2017 - 14:33

WILBERFORCE yakolola ali mu ggwanika, wakati mu mirambo! Abaali ku ggwanika baasooka kwekanga, kyokka oluvannyuma ne bafuna oluggumuggumu ne bakima omuvubuka ono eyali takyafaananika ne bamuzza mu ddwaaliro...

Bababbyeko omwana ku kkanisa ya Bujingo

Thu, 03/23/2017 - 14:33

Bagamba nti ekisinze okubamalamu amaanyi bwe bagezezzaako okulondoola omwana waabwe omukuumi w’ekkanisa eno n’abakuba nga bw’abalabula okukomya okugamba nti omwana waabwe yabuulidde mu kkanisa kuba kyonoona...

Kikakasiddwa: Nnamwandu wa Kaweesi bamulongoosezzaamu omwana ow'obulenzi

Thu, 03/23/2017 - 14:33

Kimaze okukakasibwa nti Nnamwandu wa Kaweesi, bamulongoosezaamu omwana ow'obulenzi. Annet Kaweesi bamulongooselezza mu ddwaaliro lya Nakasero Hospital leero ku Lwokuna era agavaayo galaga ali mu mbeera...

Omuserikale eyakubye amasasi mu bantu ne gatta omwana n'okulumya abalala 2 akwatiddwa

Thu, 03/23/2017 - 11:33

POLIISI ekuttte omu ku baserikale eyakubye amasasi mu bantu e Busujju okukkakkana nga gasse omwana ow'emyaka ebiri n'okulumya abakulu babiri.   Sgt. Geoffrey Egwang yasangiddwa Kampala gye yabadde...

Ennyonyi ya Poliisi gwe yayonoonera enju akyalaajana

Thu, 03/23/2017 - 11:33

Ennyonyi ya Poliisi gwe yayonoonera enju akyalaajana: 'Kaweesi ebadde yeeyamye okunzimbira ennyumba yange baamukubye amasasi, simanyi kiddako'      

Pages