All Uganda news

Bukedde TV

Subscribe to Bukedde TV feed Bukedde TV
The most recent articles
Updated: 3 min 2 sec ago

Abasomesa b’e Mukono basasulwa bulungi

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Owoolugambo waffe atugambye nti ennyirira gye baliko ewa essanyu ekiraga nti bakama baabwe babasasula bulungi era bannaabwe abamasomero amalala gye bakaabira embeera embi nga n’abamu obasanga empale n’ebiteeteeyi...

Ameria Nambala ali ku mudaala?

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Mukaziwattu abadde kagye afune ku ssanyu ly’obufumbo ate omusajja eyamusigula ku yali bba omukozi wa Radio omu e Kamwokya naye n’amusuulawo. Omusajja agambibwa okukyawa Nambala mufumbo ng’era musuubuzi...

Ssegawa ataddeko feesi ebanja nga Faaza abatabaganya ne Walukagga

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Ssegawa aludde nga talima kambugu ne muyimbi munne Matthias Walukagga. Wiiki ewedde bwe baabadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Herman Basudde n’okujjukira bwe giweze emyaka 20 bukya afa, Rev. Fr. Joseph...

Chamilli bamuyiyemu obukadde 100 ez’ekivvulu

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Bano beegasse ku Vision Group efulumya ne Bukedde. Chameleone yategeezezza nti ssente zino agenda kuzeeyambisa okwongera mu birango n’okukunga abantu okweyiwa e Lugogo mu Cricket Oval nga June 30, babeerewo...

Bwe ntuuka mu kisaawe bigaana

Mon, 06/26/2017 - 11:59

OLABIKA oli muvubuka kubanga mu bavubuka, oluusi wabeerawo okutya olumu n’ensonyi. Kino okusinga kibeerawo ng’obwagazi olina naye ng’omutima tegunnasalawo. Oyinza okutya okufunyisa omuwala olubuto,...

Omuwala ampendulidde abavubuka ne bankuba

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Nze Robert Nahabara, ndi musuubuzi wa ngoye enkadde nga mbeera mu Kagugube Zooni e Makerere era gye nnali mbeera ne mwana muwala Jassy. Twayagalana ne Jassy okumala ebbanga era nga buli omu asuubiza...

Eyeefuula omukazi akuule abasajja mukwate

Mon, 06/26/2017 - 11:59

Okukwata Simon Akuti 20, ow’e Kasokoso kyaddiridde banne be yali aleese okuva mu kyalo okukola naye mu Britania Factory esangibwa mu Nakawa okumusanga ng’ayambala engoye z’abakazi buli lunaku nga n’amannya...

Don Bahat atandise 'essape' lya Ssemwanga.

Sun, 06/25/2017 - 20:57

Bya Martin Ndijjo Bahat Lubega amanyiddwa nga Don Bahat, omu ku bavubuka gyebuvuddeko abeerangiridde okwagala okudda mu kifo ky'omugenzi Ivan Ssemwanga (Ali Ssenyomo) abadde ayogerwako nga 'kabaka'...

SK Mbuga bagenda kumulongosa omulundi ogw'okubiri

Sun, 06/25/2017 - 20:57

Bya Martin Ndijjo Oluvannyuma lw'okumulongoosa amagulu wiiki ewedde nga n'embeera yeyongedde okulongooka, Omugagga SK Mbuga nate abasawo basazeewo bagenda kuddamu okumulongosa omulundi ogw'okubiri era...

Kabaka alambudde ku Ssebaana

Sun, 06/25/2017 - 17:57

Bya Dickson Kulumba   KABAKA RONALD Muwenda Mutebi II alambudde ku musajja we John Ssebaana Kizito e Nakasero Hospital gyajjanjabirwa.   Kabaka ayaniriziddwa Joseph Kiwanuka Munywanyi wa Ssebaana...

Abatujju bakubaganye n’abakuumi e Mecca

Sun, 06/25/2017 - 17:57

MECCA, Saudi Arabia   ABASERIKALE bamuntunsolo balemesezza abatujju okukuba Abasiraamu mu kibuga ekitukuvu e Mecca mu Saudi Arabia.   Abatujju bano baabadde bazinzeeko omuzikiti omukulu mu kiseera...

Minisita Maria Mutagamba afudde

Sun, 06/25/2017 - 17:57

BYA JOHNBOSCO MULYOWA Eyaliko Minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi era Minisita w’ebyobulambuzi era eyali Omubaka omukazi owa disitulikiti ye Rakai Hon.Maria Emily Nakalema Lubega Mutagamba yafudde....

Okusaala Eid El Fitri

Sun, 06/25/2017 - 14:57

Hoo.. oba bino nninnye byaki ebinandesa abazzukulu..

Sat, 06/24/2017 - 17:55

LEERO zinsanze, nfudde nze, oba ne ngwiira wano abazzukulu mbagamba ntya... Mwana wange mpolampola ekintu tekinkuba ekigwo.... ebyo bye bimu ku bigambo jjajja w’abaana ono obwedda by’alaajana okuva...

Gavana Mutebile awadde essuubi ku byenfuna bya Uganda

Sat, 06/24/2017 - 17:55

Bya Muwanga Kakooza GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile ategeezezza nti ebyenfuna by’eggwanga bitambula kasoobo nnyo kyokka kisuubirwa nti bijja kudda engulu mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogutandika...

Abato basabye Kadaga ku mwenge mu masomero

Sat, 06/24/2017 - 17:55

Bya Muwanga Kakooza ABAANA b’amasomero bagenze ewa sipiika Rebecca Kadaga ne basaba  palamenti eyise etteeka ekkakkali eritangira ettamiiro erikudde ejjembe mu ggwanga ng’omuze gutandise n’okusensera...

Ba Ghetto Kids bakiikiridde Uganda mu BET

Sat, 06/24/2017 - 17:55

Bya Martin Ndijjo Abaana ba Triplets Ghetto Kids abaazinira mu luyimba lwa ‘sitya loss’, ddala baliko ekisa kya Katonda era buli olukya ebitaala byongera kumuta. W’osomera bino bataka mu kibuga Los...

Kabaka akulisizza Abasiraamu okumalako ekisiibo

Sat, 06/24/2017 - 17:55

Bya DICKSON KULUMBA   KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti obumu,okwagalana n'okwagaliza ky'ekisumuluzo ky'obutebenkevu mu ggwanga lino.   Bino biri mu bubaka bwe ng'akulisa Abasiramu okusiiba...

Engeri meekaapu ne tekinologiya gye bikyusa endabika y’abakazi

Sat, 06/24/2017 - 17:55

Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE MARTIN NDIJJO OMUSAJJA bw’akukwananga n’atandikira ku kya kukusaba kugenda ku bbiici muwuge oba ekidiba ekiwugirwamu, guma. Aba tayagala kukusobyako nandiki okulaba ku bwereere...

Pages