All Uganda news

Bukedde TV

Subscribe to Bukedde TV feed Bukedde TV
The most recent articles
Updated: 1 hour 31 min ago

Abazadde mutegeke abaana mu kifo ky’okubategekera

Thu, 04/20/2017 - 18:22

Muliraanwa nsaba kumpa ku mazzi g’okunywa. Owange, essigiri y’ewuwo ekola mulimu ki lwaki temufumba gammwe? Nedda mukwano gabaddewo naye gaweddewo ate mpulira omutima gunkubira ku sipiidi ndabika...

‘Amateeka g’ebidduka gakwate n’aba ttulafi ki’

Thu, 04/20/2017 - 15:22

Bya SAMUEL BALAGADDE ABASUUBUZI n'abasaabaze abataataaganyizibwa ebidduka ebikwamira mu makubo olw'okubitikka akabindo n'okubeera mu mbeera embi baagala poliisi y'ebidduka mu bitundu gye biba biva...

Bodaboda z’e Ntebe bazitaddeko manvuuli

Thu, 04/20/2017 - 15:22

Bya JULIET LUKWAGO BAGAMBA nti enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, era n'ensi bw’egenze ekula buli kimu kitandise okukyuka omuli n'ebyentabula. Abavuzi ba bodaboda e Ntebe batandise...

Museveni agenda kusisinkana Bannayuganda abali e Bulaaya

Thu, 04/20/2017 - 15:22

Olukung'aana lwakutuula mu Bungereza mu July w’omwaka guno nga lutegekebwa Bannayuganda abali e Bulaaya nga bakulemberwa Abbey Kigozi Walusimbi. Walusimbi yagambye nti basuubira Pulezidenti Museveni...

Ebyobufuzi bya FUFA byolekedde okuziika Villa

Thu, 04/20/2017 - 15:22

Mbidde, omu ku bakungu abakulidde mu mupiira, yagambye nti kiraabu okugula emipiira ziyita mu bamu ku baddiifiri n'alabula nti singa tekinogerwa ddagala omupiira gwakusereba. Abawagizi ba Villa bangi...

Ssente z’abavubuka n’abakadde zisaliddwaako mu bajeti ejja

Thu, 04/20/2017 - 15:22

Bya AHMED MUKIIBI PULOGULAAMU za Gavumenti ez’okuwagira n’okusitula embeera z’abavubuka, abakyala, abalema n’abakadde ziri mu lusuubo oluvannyuma lwa bajeti empya eya Minisitule y’Ekikula ky’Abantu...

KCCA FC ewanuddeyo SC Villa ku ntikko

Thu, 04/20/2017 - 15:22

KCCA 2-2 URA Enkya (Lwakutaano): Vipers - Soana e Kitende Saints - Proline e Bombo Semi za Uganda Cup: Paidha Black Angels - Sadolin Express - Police/KCCA Mu kisaawe kino kye...

Seminti w’Omuzikiti omubbe amukwasizza

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Bya REGINAH NALUNGA  NE WASSWA B SSENTONGO POLIISI e Matugga ekutte omukazi agambibwa okubba ensawo za seminti 46 okuva ku Muzikiti gwa Masgid Juma e Migadde. Nuru Najjuma 42 omutuuze w’e Kazo Angola...

Eyafumita bba ebiso n'amutta bamusibye emyaka 10

Thu, 04/20/2017 - 12:22

OMUKAZI eyatta bba ng’amulumiriza obwenzi akkirizza ogw’obutemu, omulamuzi n’amuwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 10. Lamula Namasinga 21, ow’e Namagoma mu ggombolola y’e Nsangi e Wakiso ye yaweereddwa...

Afumise bba ekiso nga balwanira ssente

Thu, 04/20/2017 - 12:22

ABAFUMBO balwanidde ssente omukazi n’akwata ekiso n’akifumita bba ku mutwe. Robert Serugo 23, ow’omu Lubya Zooni e Namuhhoona ng’akolera Nakivubo agamba nti mukyala we Esther Serugo yatabusse oluvannyuma...

‘Tulokose tetukyaddamu kubba’

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Kyakulembeddwa Brayan Ibembe akulira poliisi eno nga kyayindidde mu Zooni omuli Mbuya, Kinnawattaka, Katogo, Banda gye baasanze abavubuka abawera nga banywa enjaga. Lawrence Kiwanuka ssentebe wa LC...

Ab’e Bwaise basomesa abawala okukola paadi

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Bya GODFREY LUKANGA ABAKYALA b'e Bwaise mu munisipaali y'e Kawempe bayiiyizza paadi ezisobola okukozesebwa abawala okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero. ...

Balooya bakubye ebituli mu liizi z'e Mmengo

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Looya Luyimbaazi Nalukoola owa Kkampuni ya Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors yagambye nti wadde liizi y’emu ku nkola omuntu gy’afunamu obwannannyini ku ttaka, naye erimu obukwakkulizo obuwerako,...

Kabaka ataddewo enkola empya ku ttaka lye

Thu, 04/20/2017 - 12:22

MMENGO etongozza enkola y’okuwa ebyapa abantu bonna abalina ebibanja ku ttaka lya Kabaka. Ebyapa bino ebya liizi ey’emyaka 49 byakuweebwa abantu ku bibanja byabwe kwe babeera ne kwe bakolera, nga tebayise...

Obulabe obuli mu kwekebera siriimu

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Bya RUTH NAZZIWA MU kaweefube w’okulwanyisa akawuka ka siriimu, abantu abamu basazeewo okwekebera bokka nga tebagenze mu malwaliro mu basawo abakugu. Bano bakozesa obuuma obuyitibwa RDTs nga babugula...

Abaasobezza ku mwana ne bamutta babakutte

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Esther Nannyonjo, muwala wa Lillian Namwanje owe Najjanankumbi mu Namuli Zooni mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo ye yatiddwa mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande nga nnyina agenze okucakala mu ndongo...

Looya wa Daniella atangaazizza ku bya mututte mu kkooti

Thu, 04/20/2017 - 12:22

“Nkimanyi bulungi Daniella ne Chameleone baagattibwa mu bufumbo obutukuvu ate n’eddiini gye basoma tebakkiriza kwawukana kale naffe tetusobola kusaba kkooti kwawukanya bantu wabula Daniella ye yeetaaga...

Kituufu tulina ebitutabula ne Daniella naye tebyandituuse ku ssa lya kusattulula bufumbo bwaffe - Chameleon

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Agamba nti kyonna ekisoboka kikolebwa okulaba nga batabagana nga n’obuwanguzi obusooka bwe yatuuseeko kwe kulaba nga Daniella yakomyewo awaka e Seguku gy’abadde yanoba. Eggulo Daniella yabadde Seguku....

Entalo za Chameleon ne Daniella zimaze emyaka 14: Fr. John Scalabrini ye yali abakwatiridde

Thu, 04/20/2017 - 12:22

Bangi baalagula ku bufumbo bwabwe obutabaawo nga ne mu kusooka taata wa Daniella, Fr. John Scalabrini teyali musanyufu olw’omuyimbi ono okwagala muwala we. Daniella abadde yaakadda mu maka ge e Seguku...

Gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we

Thu, 04/20/2017 - 09:22

MUKYALA wange yantamya omukwano kuba gwe yaleeta nga mwannyina yali muganzi we! Nze Denis Lukwago, mbeera Mutungo. Tubadde tumaze ne mukyala wange emyaka ena mu bufumbo nga tulina abaana babiri. ...

Pages